Bya Paul Adude
Okuwuliriza omusango gwa Godfrey Wamala amanyiddwa nga Troy avunanibwa okutta omuyimbi Moses Ssekibogo eyali amanyiddwa nga Mowzey Radio kwogenzeddway okutukira ddala nga 27 Septmba, oluvanyuma lwomujulizi woludda oluwaabi abadde alaindiriddwa ate obujja.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Joseph Kyomuhendo lutegezezza kooti e Entebbe ebadde ekubirizibwa omulamuzi Jane Francis Abodo nti omujulizi waabwe, Frantile Lwamusayi omusirikale wa poliisi taliiwo, nga yatumiddwa ku mirmu emikulu.
Kyomuhendo asabye kooti eyise ekibaluwa ekiyita omusirikale ono, okumukaka ajje mu kooti kubanga omusangfo guno mukulu nnyo.
Mowzey Radio kinajjukirwa nti yafiira nu ddwaliro lya Case Hospital mu Kampala nga 1 February mu 2018, oluvanyuma lwebiwundu bweyafuna, mu kulwanagana okwali mu baala ya De Bar Entebbe nga 22 mu January wa 2018.