Okuwulira omusango okuvunaanibwa omupoliisi eyakuba munnamawulire tekugenze mu maaso
Kiddiridde omusawo wa poliisi eyekebejja munnamwulire Andrew Lwanga obutalabikako mu kkooti nga tawadde na nsonga
Joram Mwesigye agambibwa kukuba munnamawulire Lwanga n’amumenya ekizi ng’agenda mu maaso n’okukola emirimu gye
Omulamuzi wa kkooti eya Buganda Road Ssanyu Mukasa kati omusango agwongezezzaayo okutuuka nga 25 omwezi guno.