Kkooti egobye sitatimenti eyakolebwa om ku bavunaanibwa okutega bbomu ezatta abantu abasoba mu 70 .
Muzafaru Luyima yeeyakola sitatimenti eno kyokka nga yagyegaana ng’agamba nti bamutulugunya okugikola.
Omulamuzi Alfonse owiny Dollo agambye nti amakubo agayitibwaamu okujjako omuvunaanwa ebigambo tegali mu mateeka.
Omulamuzi agambye nti kasita omupoliisi awandiika sitatimenti tayogera na muvunaanwa, kiba kikyaamu.
Omu poliisi Charles Mutungi yeeyawandiika sitatimenti okuva ku Muzafaru ng’ono yali yategeeza nga bweyategeera nti Baganda be okwaali Issa Luyima ne Hassan Luyima baali bakutega bbomu kyokka n’ataloopa
Omulamuzi asabye atwala poliisi okuzzaayo aba poliisi bano bafune obukugu ku ngeri y’okukwatamu emisango.
Omusango guddamu nkya.