Skip to content Skip to footer

Ogw’omusawo gwongezeddwaayo

Killer nurse 2

Okuwulira omusango oguvunaanibwa omusawo agambibwa okusiiga omwana obulwadde bwa mukenenya kwongezeddwaayo okutuuka nga 19 omwezi guno

Olwaleero kkooti ewulirizza obujulizi okuva eri omupoliisi Richard Wekuyo ng’ono yeeyakulemberamu abayaza amaka g’omusawo ono Rose Mary Namubiru

Ono agambye nti nga batuuse mu maka g’omukyala ono , basangayo emikebe gy’eddagala eriweweeza ku mukenenya era nga kyeyoleka bulungi nti mulwadde

Ono mujulizi wa kuna alumiriza omukyala ono okukukuba omwana empiso n’ekigendererwa ky’okumusiiga obulwadde

Ono ebisango yagizza ng’ennaku z’omwezi 7 omwezi oguwedde

Leave a comment

0.0/5