Okubala emisango egigyakandaliridde okw’ennaku 2 kutandise amakya galeero okwetolola eggwanga lyonna.
Wano mu Kampala okubala emisango kukulembeddwamu omulamuzi omukulu Yorokamu Bamwine .
Kino kigendereddwamu kumanya misango emeka egigyakandaliridde gigabanyizibwe eri abalamuzi nga era batunulira kkooti 420 okuviira ddala ku kkooti enkulu, ento n’ezamagye.
Mu ma kkooti eg’enjawulo getutuusemu nga City hall, kkooti enkulu n’ebdala okubala emisango kwatandise dda era bitambula bulungi.