Skip to content Skip to footer

Okufa kwa munnamwulire: Hadad MUbiru

Bya Juliet Nalwooga

Poliisi etegezezza nga bwekyalindirirdde alipoota yabasawo, abekebejjeza omulambo gwa munnamwulire Hadad Mubiru, nti balyoke bategeere ekyamusse.

Omulambo gwa Mubiru gwazuliddwa olunnaku lwe ggulo e Kanyanya wabadde asula, era poliisi yakubiddwa essimu okuva ewomuntu eyategerekese nga Sseruyange nababuliira ku byabaddewo.

Oluvanyuma lwokulaba omulambo guno, kyazuuse luvayuma nti ye munnamawulire Hadad Mubiru, abadde akola ne BTM news.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala nemirirwano Luke Owoyesigyire agambye nti omulambo bagututte mu gwanika lye ddwaliro ekulu e Mulago, wabulanga mpaawo kyebazudde kyamaanyi kubanga nomubiri gwe tegwasangiddwako kiwundu kyonna.

Leave a comment

0.0/5