Skip to content Skip to footer

Okujjukira Mandela-kati omwana gumu ng’afudde

Mandela candle

Ebikujjuko ebitali bimu bigenze mu maaso mu ggwanga lya South Africa okujjukira nga bweguweze omwaka bukyanga  Nelson Mandela afa

Wabaddewo okussa ebimuli ku malalao g’omugenzi n’empaka z’emizannyo egitali gimu.

Abavumirira ekiboola langi era beegasse ku namwandu wa Mandela Graca Machel okwetaba mu kusabira omwoyo gw’omugenzi mu kibuga Pretoria.

Abantu bawuliddwa nga bafuuwa emirere okwetoola eggwanga nga tebannasirikirira okumala eddakiika ssatu okujjukira omugenzi

Mandela nga ye mukulembeze wa south Africa omuddugavu eyasooka yafa omwaka oguwedde ng’aweza emyaka 95

Leave a comment

0.0/5