Bya Damalie Mukhaye
Akakiiko kebyokulonda mu gwanga aka Electoral Commission kategezezza nti tebagenda kwongezaayo ssale ssale owokuwandiisa abalonzi abanetabab mu kulonda kwe byalo.
Ssale ssale ono wa lwaleero, waddenga abamu basaba nti enteka teeka yokuwandiisa eyongezebweyo.
Okuwandiisa abalonzi ku byalo kwaggulwawo ku Lowkuna lwa wiiki ewedde nga 26th, nga kukomekerezebwa owaleero 30th.
Omwogezi wakaiiko kebyokulonda Jotham Talemwa, atubuliidde nti tebagenda kwongezaayo ntekateeka eno.
Agambye nti okuwandiisa kutambudde bulungi songa era tebanafunayo kiragiro kya kooti kyonna kibayimiriza
Okuwandiisa agamba nti kwalubiridde emiruka 7,795 nebyalo 59,315 okwetoola egwanga.
Wabula bino webijidde ngaba FDC basaba nti okuwandiisa kwongezebweyo, kubanga abantu tebajjumbidde.