Bya Damali Mukhaye.
Ministry ekola ku by’obuamu esabye abakulembeze ba kampala okukunga abantu bebatwala okugenda bwewandiise okufuna obutimba bw’ensiri mu kiwendo kino.
Bano okuvaayo nga ministry eno etegese okutandika okuwandika abantu wano mu kampala leero abanaafuma obutimba buno, n’oluvanyuma okugaba obutimba kutandike.
Twogedeko ne minister omubeezi akola ku by’obulamu Sarah Opendi n’agamba nti bagabye obutimba buno mu uganda yonna, kale nga kampala yokka yekyasigadde.
Ono agamba nti kampala ekyaberarikiriza, kubanga abasinga ku batuuze tebasiiba waka, kale nga beetaga abakulembeza okubayambako okumatiza abantu baweeyo olunaku bewandiise , era bafune obutimba.