Bya Samuel ssebuliba
Akulira banka enkulu eya uganda Prof. Tumusiime Mutebure ategeezeza nga kukona kwa uganda mu by’enfuna bwekivudde kubanna- uganda abazaala obutedizza
Bino mutebeire abyogeredde wano mu kampala mu lukungana olw’okukubaganya ebirwoozo ku by’enfuna bya uganda mu myaka 30 egyakayita.
Ono agamba nti okutandikira mu myaka gye 80s eby’enfuna bya uganda byakolebwamu enkyukakyuka ezitali zimu, era nebitandika okukula, kyoka omuwendo gw’abanna- uganda ogukula buli kadde kati gutandise okuzza embage ekyali kituukidwako, olwabantu abatalina mirimo okweyongera.
Kati ono asabye banekolera gyange okukwatizaako govt okulaba nga kino kikoma.