Bya Ruth Anderah
Omulundi ogwokubiri, okuwlira omusango gwomuyizi ku ttenedekro lya YMCA, Brian Isiko owmyaka 25 tekugenze mu maaso.
Ono avunanibwa okukwenyakwenyanga omubaka omukyala owe Kabarole Sylvia Rwabwoogo ngamusindikira obubaka obwomukwano.
Kitegezeddwa nti omulamuzi ali mu mitambo gyomusango guno, Stella Amabilisi taliiwo ali mu gwanga mu gwanga lya America ku mirmu emitongole.
Kati omulamuzi we ddaala erisooka mu kooti ya Buganda road Ketty Joan Acaa omusango agwongezaayo okutukira ddala nga November 23rd.
Kino kyadirira kooti ejjulirwamu okulagira omusango guno guddemu okuwulirwa.
Oludda oluwaabi luigamba nti Isiko wakati wa November 2017 ne June 2018 yasindikiranga Rwabogo obubaka, ngenamba ye yajijja ku website ya palamenti.