Bya Shamim Nateebwa
Abakyala abawangaala nakawuka aka mukenenya mu kibiina ekya International Community of Women Living with HIV Eastern Africa olwaleero bagasse ku nsi yonna okukuza olunnaku lwa World Contraceptives day, 2018 olwempeke ezentegeka ye zadde nomulanga okumalalwo emizizko gyonna ejiremesa abakyal okufuna enkola ezentegeka ye zadde.
Bwabadde ayogerako ne banamawumlire manager wekitongole kino Hope Margret agambye nti abkyala nabawala bangi bakyalemesebwa okufuna obuwereza buno.
Agambye nti ebibalo biraga nti abafuna obuwereza buno bali ku bitundu 34% mu Tanzania, Rwanda 53%, Kenya at 58% ate Uganda yekyali emabega 30%.
Agambye nti wakyaliwo obwetaavu okumanyisa abantu ku family planning.