Bya Damali Mukhaye.
Olukiiko olukataba enzikiriza ez’enjawulo alwa inter-religious council kyadaaki lukakasizza ebigenda okugobererwa mukubaganya ebirozoozo okw’egwanga lyonna okusuubirwa okubaawo mu November omwaka guno.
Bwabadde ayogerako ne banamawulire wano e Mengo, ssentebe w’olukiiko luno Sheikh Shaban Ramadhan Mubaje agambye nti newankubadde bannayuganda baabawa ensonga ez’enjawulo zebaagala zoogerweko bakaanyiza okwesiba ku nsonga nga etaka, obuweereza, eby’enfuna, ebyobufuzi.
Okuteesa kuno kugenda kubaawo nga 21st era nga kusubirwa okwetabwamu banabyabufuzi bonna, kko n’abakulembeze.