Skip to content Skip to footer

Omubaka Kasibante Moses asuze mu kkomera .

kasibante to prison

Omubaka wa Rubaga North Moses Kasibante olwaleero asuze Luzira

Ono asindikidwa ku alimanda e Luzira okutuuka ku lw’okutaana olwa wiiki eno.

Omulamuzi w’eddala erisooka mu kooti ya Mwanga II Susan Abinyo y’asindise Kasibante ku musango ogw’okuzimuula ebiragiro bwa Kkooti.

Omulamuzi agambye nti ddembe lya Kasibante okweyimirirwa wabula omu ku bantu abemweyimirira mu kusooka, Mukiibi Sserunjogi yava mu bulamu bw’ensi eno.

Bannamateeka ba Kasibante babadde baleese abantu abalala okumweyimirira kyokka omulamuzi n’ategeza nti tabadde na budde bwa kubawuliriza.

Bano kubaddeko Medard Ssegona, Mathis Mpuuga,  Betty Nambooze.

Leave a comment

0.0/5