Bya Damalie Mukhaye
Omubaka omukyala owa disitulikiti ye Rakai, Juliet Kinyamatama, alangiridde nga bweyegasse ku bavuganya ku kifo kya sipiika wa palamenti empya eyomulundi ogwe 11.
Kati abavuganya ku kifo kino baweze 5, okuli Rebecca Kadaga, omumyuka we Jacob Oulanya nga bombi ba NRM.
Abalala kuliko owa FDC Ibrahim Ssemujju nowa DP Richard Sebamala.
Bwabadde atongoza kampeyini ze ku palamenti, omubaka Kinyamatama agambye nti agenda kutuusa ensonga zabavubuka, okuziteeka ku mwanjo.
Agambye nti wakufua okulaba nti amakampuni gobwanannyini, aganaawa abavubuka emirimu waakulaba nti bagasalirako ku musolo.