Bya Damali Mukhaye, Ivan Ssenabulya ne Abubaker Kirunda,
Okulonda e Lubaga mu bifo ebyabadde biweereddwa obukongo obutali bwayo kutandise oluvanyuma lwokufuma obutuufu.
Ebifo awalonderwa 8 byaweereddwa bukonge bwe luwero ate awalala bya Mutundwe nga bwabadde bulina okukimibwa ate balinde obutuufu ekiviriddeko okulonda okutandika ekikerezi
Mu kwogerako naffe, Janani Muzhuni,agent wa Erias Lukwago, agambye nti ku poliing station ya big ways mu Ndeeba, okulonda kumaze ne kutandika bwebafunye obukonge obwabwe
Ate ye omubaka omulonde owa Kampala Central Muhamadh Nsereko anenyeza gavt obutalangirira lunaku lwa leero ngolwokuwumulirako ekiremeseza abalonzi okugenda okulonda
Nsereko nga agenti wa Erias Lukwago agamba nti ensonga eno yeremeseza abalonzi okwetanira okulonda kwa leeo kuba bakedde ku mirimu
Ono anokodeyo abasawo, abasomesa na balala nti tebalonze bakedde kuhgenda ku mirimu
Ate okuvako mu disitulikiti eye Jinja ku Nakabango polling station esangibwa mu kibuga kye Jinja baliko omusajja gwe bambudde oluvanyuma lwokumusanga nobukonge bwo bululu obutikinge
Ono atasiddwa poliisi okugajambulwa abalonzi ababadde batamye obugo
Simon Kalulu omu ku bavuganya kubwa kansala mu Jinja city yazze nga amulinya kagere kwekumukwata