Bya Ivan Ssenabulya,
Omubaka wa Kawempe North Muhammad Ssegirinya alayiziddwa wakati mu bigambo okuva eri abogezi ku mikutu gyomutimbagano nti yefuula omulwadde mu kwewala okulabikako eri kkooti ku musango ogukwata ku buyigirizebwe.
Ssegirinya nga abadde kansala mu lukiiko lwa KCCA kigambibwa nti empapulaze ezobuyigirize zawakanyizibwa bannabyabufuzi banne wabula ono abadde mulwadde ebbanga eriwera nga agamba nti mu kumukwata okwasembayo yatulugunyizibwa nyo
Ssegirinya leero alayidde okukiika mu palamenti eyomulundi ogwe 11 nga awerekeddwako abantu 2
Mu kwogerako ne bannamawulire oluvanyuma lwokulayira, ategezeza nga bwagenda okukuuma ekisuubizo kye, ensimbi zonna obukadde 200 ezinamuweebwa mu palamenti okugula emotoka wakuziza mu kitundu kye ziyambe abanaku.