Bya Ndaye Moses ne Prossy Kisakye,
Omubaka wa West Budama, Jacob Oboth Oboth asabye ababaka mu palamenti empya obutalonda sipiika nómumyukawe nga besigama ku buggaga bwabwe.
Oboth oboth okwogera bino asinzidde ku kitebe kya kakiiko ke byokulonda aka NRM bwabadde agenze okwewandiisa okuvuganya ku kifo kyomumyuka wa sipiika.
Ono agamba nti agómukkuubo galaga nti abegwanyiza ebifo ekya sipiika nomumyukawe batandika dda okusonseka ababaka ensimbi basobole okubalonda mu kifo kyokwesigama ku busobozi.
Ono asabye abakulu mu kibiina kye nábabaka ba palamenti bamuteekemu obwesige bamuwe ekifo kyomumyuka wa sipiika.
Ono abadde mu pamaneti emyaka 10 era atudde ku bukiiko bwa palamenti obuwera okuli nake byamateeka.
Oboth yegase ku banne abalala bastu okuli omubaka omukyala owé Kakumiro Robinah Nabanja, eyewandisiza olunaku olwaleeo nga ayagala ekifo kyekimu.
Ate Olunaku lweggulo, omubaka omukyala owa disitulikiti ye Bukedea Anita Among nomubaka wa Ruhinda North MP Thomas Tayebwa nabo bewandisiza okuvuganya ku kifo kye kimu.