Bya Juliet Nalwooga
Akakiiko aka Uganda Law Reform Commission, kasabye abantu babulijjo okwesamba amauwlire agayitinganye, agalaga nga ssemateeka bweyakoleddwamu enongosereza, ebisanja byabakulembeze ku mitendera gyonna nebabyongeza okuva ku myaka 5 okudda ku myaka 7.
Mu kiwandiiko ekivudde mu kakiiko kano, batanagazza nti mu musango gwokujulira ogwawaabwa munnamateeka Hassan Male Mabirizi obuwayiro 2, 6, 8, 9 ne 10 mu ssemateeka we’gwanga, kooti yalamula nti kyali kikyamu.
Bagambye nti kino era kyaganibwa ne kooti ensukulumu, mu nnongosereza ezaali zikoleddwa palamenti mu mwaka gwa 2017.
Amawulire agabadde gagenze gasasaana ku mitimbagano, nga galaga nga ssemateeka bweyakoleddwamu enongosereza nebongeza emyaka gyekisanja.