Skip to content Skip to footer

Omubaka Suzan Namaganda afudde

Sipiika wa palamenti Omukyala  Rebecca Kadaga akungubagidde abadde omubaka omukyala owe Bukomansimbi Suzan Namaganda.

Namaganda ng’abadde atuula ku kakiiko k’ebyobulimi mu palamenti afudde oluvanyuma lw’okufuna akabenje mu kiro ekikesezza olwalereo ku luguudo lwe Masaka.

Kadaga agambye nti enteekateeka z’okuziika ziggya kuba nga zirangirirwa akadde  konna.

Bbo ababaka ba palamenti abatali bamu baweerezza obubaka obukungubagira Namaganda

Omubaka omukyala owe Luweero Brenda Nabukenya agamba nti omugenzi abadde mulwanirizi w’eddembe lya buntu.

Ono asabye wabeewo okunonyereza ku kabenje omwafiiridde omubaka.

Yye eyalim inisita e Mengo Florence Nakiwala Kiyingi agamba nti eggwanga lifiiriddwa omukulembeze owa maanyi.

Yye ssabawandiisi wa DP Matia Nsubuga agambye nti bali mu nkiiko n’aba palamenti okulaba nti bamaliriza enteekateeka z’okuziika.

Omulambo gwa Namaganda mu kadde kano gutwaliddwa Mulago okwongera okwekebejjebwa

Namaganda eyazaalibwa mu mwaka gwa 1984 afudde wa myaka 31era nga y’abadde mukyala w’omubaka Fred Mukasa Mbidde.

Yayingira mu palamenti mu mwaka gwa 2011 oluvanyuma lwa Bukomansimbi okukutulwa mu Masaka eya wamu

Alese abaana basatu ng’omukulu wa myaka 3 ate omuto wa myezi musanvu

Leave a comment

0.0/5