Bya Ndhaye Moses
Omubaka omukyala owa disitulikiti ye Bukedea, Anita Among atutteyo okusaba kwe mu buwnadiike eri akakiiko kekibiina kya NRM akebyokulonda, nabategeeza nga bwagenda okuvuganya ku kifo kyomumyuka w’omukubiriza wa palamenti eyomulundi ogwe 11.
Among abadde awerekeddwako kabiite we, Eng Moses Magogo ngagambye nti ekimu ku byatunuliidde kwekulongoosa embeera yababaka ba palamenti.
Ono kati yasokedd ddala okuvaayo okulaga obwagzi bwe eri akakiiko kekibiina akebyokulonda, nga bwebalagiddwa olukiiko olwa CEC.
Ssentebbe webyokulonda munda mu NRM, Dr. Tanga Odoi agambye nti olwaleero lwerunaku lwebatandise ku ntekateeka eno, oluvanyuma amanya gaabwe gakutwalibwa mu lutuula lwa kabondo ekibiina, nga 23 May 2021, balndeko bebanawagira mu lutuula lwa palamenti olwawamu.
Kwo okulonda sipiika nomumyuka we, kugenda kuberawo ku Bbalaza nga 24 May.