Bya Abubaker Kirunda
Omulamuzi akulira kooti eno e Jinja, Catherine Agwelo asabye abakulembeze abalondeddwa kubwa kansala okuddayo basome Olungereza, basobole okuteseza obulungi abantu baabwe.
Agwelo nga yakulembeddemu okulayiza ba kansala agambye nti azudde, ngabasinga olungereza lubatawaanya.
Awabudde nti olwokuba bantu bakulu, atenga balina nabaana baabwe abasoma, nga bayinza okutya okuswala, naye kisoboka okufuna abasomesa abenjawulo nebabasomesa.
Agambye nti Olungereza lukozesebwa nnyo mu mirmu gya gavumenti nemu byobusubuzi, kalenga betaaga okuluyiga.