Skip to content Skip to footer

Omubaka yegaanye okwookya mmotoka ya Muganzi we

Bya Ruth Anderah

Omubaka we ssaza lya Bukooli Central, Solomon Silwany yegaanye okwokya emmotoka ya eyali muganzi we.

Silwany ategezeza omulamuzi wa kooti ye Nabweru owe ddaala erisooka, Paul Watyama nti emmotoka eyogerwako yayononekera mu kabenje.

Wabula akaksizza nti emmotoka eno yali agyeyaziseeko okuva ku muninkini we Kasifa Katono.

Ono agambye nti teyaloopa kbenje ku poliisi kubanga emmotoka yonna, yali eyononese atenga naye yali akoseddwa era naddusibwa mu ddwaliro lya IHK ngali mu mbeera mni ddala.

Emisango ejimuvunanibwa omubaka kigambibwa nti yajizza mu June nga 14th mu mwaka gwa  2015 mu district ye Wakiso.

Omusango gwongezeddwaayo, gwakudda mu kooti nga 13th mu March wa 2018.

Leave a comment

0.0/5