Waliwo abatuuze ku Kaija village mu disitulikiti ye Masaka abakkakanye ku musajja gwebatebereza okubeera omubbi nebamutta.
Omugenzi ategerekese nga Bosco Ssenyonjo omutuuze we Bulando e Masaka.
Kigambibwa nti Ssenyonjo ne munne omulala eyasimatuse balumbye ekyalo nebabba ente 2 era baamukutte ayolekedde lufula yefuniremu ezamangu nebamuligita emigoba nte nebamutta omulambo gwe nebagukumako omuliro.