KALERWE
Bya Shamim Nateebwa
Omuvubuuka abadde agufudde omugano okubba ebisolo bya abatuuze Kalerwe nebitundu ebirilanyewo awonedde watono okugajambulwa abatuuze ku Kalerwe bwebamuguddeko lubono ngaliko embuzi yo’mutuzze gyabba.
Benson Kabesigye owe myaka 26 yakwatidwa poliisi yo ku Kaleerwe ng’abatuuze bagamba nti era azze ayimbula ebisolo mu matumbi budde.
Ku mulundi guno babadde bagala bamutte wabula newabaako atemezza ku poliisi emutasizza nga kati ono akyafuna bujanjabi e Mulago.