MUKONO
Bya Ivan Ssenabulya

Eyali ssentebbe we ggombolola ye Kyampisi mu district ye Mukono, Ibrahim Kabambwe alayiziddwa nate wakati mu kusika omugwa, oluvannyuma lwa kooti okusazaamu ssentebe abaddeko.
Omulamuzi wa kooti ento e Mukono Mariam Ssemwanga yakulembedemu omukolo guno.
Yiga Jamil abadde ssentebbe bamusuzizza ekifo kino, Kabambwe bweyaddukira mu kooti enkulu e Jjinja ngamba nti ono yalangirirwa mu bukyamu.
Poliisi ngekulembeddwamu addumira poliisi ye Naggalama Jesca Naawe, yebulunguludde ekifo, okutangira obuvuyo obubadde busubirwa.
Wabula Yiga Jamil agambye nti newankubadde Kabambwe alayidde, yakyali Ssentebe omutuufu ow’eggombolola.