Bya Moses Kyeyune
Akakiiko ka palamenti akakakasa abo omukulembeze we gwanga bawadde ebifo, kasunsudde omulamuzi Alphonse Owiny-Dollo ngomumyuka wa Ssabalamuzi we gwanga.
Akakiiko akabadde kakubirizibwa omumyuka womukubiriza wolukiiko lwe gwanga olukulu, era nga yamyuka ssentebeb waako Jacob Oulanyah, okusinziira ku mawulire getufunye okuva mu kafubo akabadde akomunda, Dollo akakasizza akakiiko nti ddala alina obusobozi okudda mu bigere byomulamuzi Steven Kavuma aganeda okuwummula olwemyaka egyamuweddeko.
Abalala abalabiseeko mu kakiiko kano kuliko, eyali ssabwaaabi wa gavumenti Richard Butera nomulamuzi Paul Mugamba nga bakutulaanga ku kooti ensukulumu. Okujjuza ekifo kya Stephen Kavuma agenda okunnyuka omwezi guno.