Bya Shamim Nateebwa
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiiga abikidde obuganda okuseerera kwa Ssenga wa Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11, Omumbejja Beatrice Juliana Muggale.
Osererdde ku myaka 90, ng’abadde abeera e Mengo ku Nfudu, ngaseredde amakya ga leero.
Kamalabyona wa Buganda, ategezezza nga bwebamazze okuteekawo akakiiko okutekateeka nokuterekka enjole yo’mumbejja.
Akakiiko kano kakulembedwamu owekitiibwa Dan Walusimbi nga kitegezeddwa nti bwekanaba kamaliirizza omulimu gwako bakulangirira eri Obuganda ddi Lwanaterekebwa e Kasubi.
Omubejja yawezza emyaka 90 mu mwezi gwomusanvu nga Ssabasajja yabadde yakamuyozayozza.
Abadde tali mu mbera mbi, wabula enkya ya leero yalabise ng’aweddemu amanyi bwebatyo abomumaka ge nebasalawo okumutwala m ddwaliro kipayo payo wabulanga asizza ogwe nkomerero nga yakatusibwa mu ddwaliro.