Skip to content Skip to footer

Omugga gwabise mu Kenya abawerako nebafa

Bya Ivan Ssenabulya

Abantu abawerako abatanamanyika muwendo bandiba nga bebafiridde mu njega, omugga bwegwabise amazzi negabooga okwanjaala mu gwanga lya Kenya.

Abobuyinza bagamba nti abantu 10 bandiba nga bebafudde.

Okusinziira ku Daily Nation bino bibadde mu bitundu bye Solai ku mugga Patel ogwesudde mil120 okuva mu kibuga ekikulu Nairobi.

Amazzi gatutte amayumba gabantu nebyabwe nga nabamu tebamanyikidwako mayitire.

Omuddumizi wa poliisi mu kitundu Japheth Kioko gyebuvuddeko atagezeza nti emirambo  20 gyebakanyulula mu mazzi.

Bbo abaddukirize aba Kenya Red Cross bategezeza nti abantu 39 bebakataasa, nga bali mu malwaliro.

Leave a comment

0.0/5