Bya Mbogo Sadat, Abazigu abatannategeerekeka basse omugoba wa bodaboda owa kampuni esaabaza abantu eya “Safe boda” n’oluvannyuma ne babulawo ne pikipiki gy’abadde avuga.
Omugenzi ategerekeseeko erinnya limu erya Alex abadde mu ka jacket ka kampuni ya “Safe boda” era kitegeezeddwa nti abadde emirimu gye ajikakkalabiza ku stage ya bodaboda ey’e Kajjansi mu district ey’e Wakiso.
Ono abaamusse bamupangisizza okuva mu bitundu by’oluguuddo lw’e Ntebe ne bamuttira ku kyalo Kikunyu mu ggombolola y’e Kalamba mu district ey’e Butambala omulambo gwe negusuulibwa mu mwala emabbali w’ekkubo okuliraana ekitebe ky’eggombolola y’e Kalamba.
Ebbali w’omulambo, wasangiddwawo ekikoofiira ekiriko ebigambo bya “Safe boda”, n’essimu ,ejjambiya nga n’akuuma akalondoola pikipiki (tracker) kaakuuliddwamu ne kalekebwa awo.
Omuduumizi wa police mu district ey’e Butambala Julius Ahimbisibwe agambye nti alipoota y’omusawo eraze nti omugenzi okufa baamunyodde nsingo.
Mu kiseera kino omulambo gutwalibwa mu ggwanika ly’eddwaliro e Gombe ng’okunonya abasse ono bwekugenda mu maaso n’okulinda abooluganda baweebwe omulambo guziikibwe.