Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi e Mukono ekutte omukuumi mu kitongole ekikuumi ekyobwananyini, ngabadde afuuse kkondo.
Innocent Okello omukumi mu kampuni ya Security Group
kigambibbwa aliko abantu beyanyaga ku mudumu gw’emmudu mu kifo ekisanyukirwamu ekya Bambusi Beach ku kyalo Namumira e Wantoni.
Kigambibwa nti obubbi buno bwaliwo mu kiro Kyolukubiri, nga yabba ensimbi emitwalo 26.
Omuddumizi wa poliisi e Mukono, Rogers Sseguya ategezeza nti ono bamukutte nomukuumi munne okuva mu kitongole kya Tight Security eyamuyambako mu bubbi buno.