Bya Ritah Kemigisa
Ssabapoliisi we gwanga Gen. Kale Kayihura alagidde okunonyereza kukolebwe mu kiongole kya poliisi ekyebyokulwanyisa.
Okusinziira ku kiragiro kino kiwereddwa eri abatwala ekitongole kino, Gen. Kayihura alagidde batandikire ku mmundu basitoola.
Mungeri yeemu alagidde nabazulibwa nga bakozesa ebyokulwanyisa obukyamu mu kitongole kino baggulweko emisango bavunanwe era babakwase empisa.
Kino kidiridde omusajja, Bryan White okukwatibwa bweyakubye omuntu amasasi wabulanga kigambibwa nti yakozesezza pistol, geyafuna mu bukyamu.
