Bya Sam Ssebuliba
Abakulu mu kibiina ekirwanirira eddembe lyabanamawulire ekya Human Rights Network for Journalists akawungezi akayise basisinkanye minister wensonga z’omunda mu gwanga Gen. Jeje Odongo ku nsonga zokuggala Redpepper.
Kinajukirwa nti RedPepper yagalwa nga 21st November nabagikulira nebaggulwako emisango.
Mu kwogera omukanaganya wemirimu mu HRNJ Robert Ssempala yategezeza minister nga okuggala kwa Red paper kukanze banamawulire bangi, songa kino kigenda kubafuula emomboze nga banoonya eby’okulya, antui tebakyakola.
Wabula mu kwanukula yye minister yagambye nti okunonyereza ku nsonga za bano kuwedde, ngakadde konna bagenda kuba bayimbulwa ne company eggulwe.
Wabula ono yategeezeza nti bano eggulire lyebwandiika lyabulabe eri Uganda ne Rwanda, kubanga amawanga gano galuganda.
Kati bakanyiza nti kyetagisa minister okufunanga akadde awayeemu ne banamawulire ku nsonga ezibaluma.