Bya Ritah Kemigisa
Poliisi mu district ye Kamuli ebakanye nomuyiggo ku bazigu, abasse omukozi ku ssundiro lyamafuta.
Abatamanya ngamba baalumbye essundiro lyamafuta erya Peters petrol station ku Adams road mu Kabuga ke Kamuli nebakuba Richard Mwanje, nebamuttirawo.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga North Michael Kasadha, agambye nti waliwo nabantu abalala 2 abafiridde mu kanyolagano.
Poliisi etegezezza ngomuyiggop bwegutandise.