Bya Ivan Ssenabulya
Abakulembezze mu kibuga kye Mukono basse omukago ne Rotory Club mu kibuga kya Viermby mu gwanga lya Sweden, okufunira abavubuka mu kitundu emirimu n’akatale k’ebyemikono.
Mayor we Mukono George Fred Kagimu abadde mu gwanga lya Sweden, endagaano eno ey’emyaka 3, gyeyatukiddwako.
Kagimu agambye nti mu ndagaano eno, Rotary Club y’omukibuga Viermaby egenda kukwasizaako abe Mukono okuzimba Youth Centre.