Bya Ndaye Moses
Ekitavvu kyabakozi ekya National social security Fund kiriko obukadde 400 zekyawudde, okuddukirira mu kuddabiriza amasomero mu kibuga nga bali wami ne KCCA ne Daily Monitor.
Ssenkulu wekitavvu Richard Byarugaba agambye nti okusinga esnsimbi zino zigenda kuva mu misinde egya Kampala Hash seven Hills Run ejitegekebwa.
Amasomero agagenda okuganyulwa kuliko St. Paul primary schools Nsabya, Mbuya Church of Uganda primary school nabamalala.
Mu misinde gyomwaka oguwedde, obukadde 200 zezakozesebwa okuddabiriza essomero lya Nakivubo settlement primary school,St. Ponsiano primary school e Kyamula ne Makerere university primary school .
Kakati Monitor Publications yakuwaayo obukadde 30, okuyambako ngabamu ku bali mu mukago guno.