Bya Abubaker Kirunda
Poliisi mu tawuni kanso ye Bugembe ekutte abakzi 2, nga kigambibwa nti balimbyelimbye ngomwana bweyawambiddwa, nekignedererwa okujja ssente mu kitaawe.
Omu ku bakwate ye maama womwana owomwaka 1 nga kigambibwa nti yakubidde kitaawe womwana Hamim Ssekabira omutuuze we Namwezi mu munispaali ye Njeru namulimba ngomwana bweyabadde awambiddwa.
Ssekabira yaloopye ku poliisi e Bugembe neyungula abampi nabawanvu abakulembeddwamu Sgt Peter Emurut, okunonyereza.
Eno omukazi bamusanze nomwana ate gwagamba nti yabula.