Bya Abubaker Kirunda
Ab’obuyinza mu gombolola ye Bukanga mu district ye Luuka, baliko abakazi 2 bebakutte, nga kigambibwa nti bakidde ennyumba ya agenti womusawo wekinansi nebakyokya.
Bino bibadde ku kyalo Budondo B bwebatekedde ennyumba ya Joel Tebinagwa omuliro, nga bamulumiriza okubatusizanga eddagala eritakola.
Ssentebbe we kyalo Emmanuel Ssebairewo nga mwami wwwomu ku bakwate, agambye nti Tebinagwa yalese omusawo omufera, nabba abantu emitwalo 25 okuva ku buli muntu.
Kigambibw anti bano basubizza abakazi bano, nti eddagala lyebabawadde ligenda kubayamba okutta bajja baabwe, wbaua teryakoze.