Skip to content Skip to footer

Omukazi asse bbaawe

Bya Abubaker Kirunda

Poliisi e Jinja eriko omukazi owemyaka 32 gwegalidde, olwokutta bbaabwe.

Grace Nangoba nga mutuuze ku kyalo Nalubaale mu Town council ye Kakira kigambibwa yakidde bbaawe Steven Mugabi, namufumita ebiso namautta bwebafunyemu obutakanya.

Ayogerera poliisi mu kitundu Dianah Nandaula agambye nti bano baatanudde okuyombagana, oluvanyuma bombi olwokunywa omwenge nebatamiira.

Agambye nti omukazi ono nakampaate akumirwa ku poliisi ye Kakira agenda kugulwako omusango gwa butemu.

Leave a comment

0.0/5