Bya Sam Ssebuliba
Omukulembeze we gwanga lya Sudan eyamambuka Omar al-Bashir kati mutaka kuno, kwagenda okumala obugenyi bwa nnaku bbiri.
Bashir atonnye mu gwanga ku kisaawe Entebbe wakati mu byokwerinda ebinywezeddwa nayanirizibwa omukulembeze we gwanga Yoweri K Museveni.
Ebimu ebiri ku mwanjo era ebsimbiddwako amannyo, ono agenda kwetaba mu nteseganya ne munne owa Uganda emikago gyebyobusubuzi, gamba nga mu byobulimi nengeri yokubenkeza emirembe mu mawanga gambi.
Presidenti Bashir yasemba okubeera mu gwanga mu May womwaka oguwedde omukulembeze we gwanga Yoweri K Museveni bweyali alayira ku kisanja kye kino.
Bashir ono yetagibwa kooti yensi yonna etuula mu kibuga Hague mu gwanga lya Netherlands, ku misango gyekitta bantu emitwalo 30 aba Sudan mu kitundu kye Darfur.
Ono bamuyisaako ekiwandiiko ekimukwata, era nebalagira buli gwanga ba memba ba kooti eno okumubowa atwalibwe okuvunanwa.
