Skip to content Skip to footer

Bamugemereire ayagala nnongosereza ku by’ettaka

 

Bya prossy kisakye

Nga Uganda yetegekera okusima amafuta n’ebyobugagga ebikusike wakyaliiwo ebisomooza bingi mu ggwanga ebirina okuterezebwa .

Okusinziira Ku mulamuzi Catherine Bamugemereire gavumenti esaana eyongere okwetegereza amateeka agakwatagana n’eby’ettaka kubanga bangi basigadde babonaboona mu ggwanga lyabwe.

Ono asinzidde mu lusirika olwategekedwa aba African Energy and Mineral managemernt initiative mu Kampala n’ategeeza ng’enkola za gavt w’ezirina okukyusibwamu okusobola okuyamba buli muntu.

Bamugemereire agamba nti etteeka abantu mwe bayita okufuna ettaka lisaana likolebwemu ennongosereza na ddala bwegutuuka ku by’okuliyirira abasengulwa ku ttaka.

Leave a comment

0.0/5