Skip to content Skip to footer

Omuliro gukutte amayumba

fire najja

Omuliro gukutte amayumba ku mwaalo gwe Lambu ebintu bya bukadde be bisanaawo.

Amyuka atwala omwaalo guno John Kiyimba agamba nti omuliro guno gusanyizzaawo amayumba agasoba mu 20.

Kiyimba agamba nti omuliro guno gwandiba nga guvudde ku sigiri erekeddwa  mu emu ku nyumba eziyidde

Wabula Kiyimba agamba nti ekirungi nti tewali Muntu yenna afudde

Guno mulundi gwa kubiri ng’omuliro gukwata ku mwalo guno nga lwegwasemba gwaali mwaka guwedde mu gw’okutaano ng’era bya bukadde byebyasanawo.

Leave a comment

0.0/5