Skip to content Skip to footer

Omuliro gukutte ebyuuma ya masanyalaze

Omuliro at Mulago

Omuliro gukutte ebyuuma ebibunya amasanyalaze mu bitundu bye Mulago n’emiriraano.

Ebyuuma bino byebigaba amasanyalaze eri abe Kwempe, Nakulabye ne bizingiramu ne Kololo kko n’ebitundu ebirala.

Akulira ekifo kino, Hassan Hussein omuliro agutadde ku masanyalaze agaafunye obuzibu ku  ddwaliro lya ba muzibe e Mulago

Obuzibu buno bwebuvuddeko tulansifooma okwabika omuliro negukwata.

DPC we Wandegeya, Julius Tusingwire wabula agamba nti basobodde okulemesa omuliro guno okulanda okukwata ebifo ebirala ebiriraanyeewo

 

Leave a comment

0.0/5