Bya Musasi Waffe
Ngebula ennaku 10 zokka okutuuka ku kulonda kwa bonna ku muliraano mu gwanga lya Democratic Republic ya Congo, omuliro gukutte ekizimbe okutudde wofiisi zakakiiko kebyokulonda mu kibuga ekikulu Kinshasa.
Tekinategerekeka obanga ebikozesebwa mu kulonda byonna byononese.
Kati akakiiko kebyokulonda kategezeza nti bakyanonereza okuzuula omuliro guno guvudde ku ki.
Omukka gulabiddwako nga gwambuka obwengula, nekiwoowo ekyamanyi.
Bbo aboludda oluvuganya gavumenti batanudde okubanja nti wabeewo okunonyereza okwanamaddala ku muliro guno.