Bya Magembe Ssabiiti.
E mityana Omuliro ogwa maanyi gusanyizaawo amaka goomu kubatuuze wamu n’ebyobugaga ebibalirirwamu obukadde n’obukadde.
Amaka agayidde, ga Gerald Mutebi nga ono ye nyini kampuni ya ‘Smart’ ekola waragi ayitibwa Mood Gin nga ono matuuze ku kyalo Nalugazi, mu Division ye Busimbi, mu munisipaali ye Mityana.
Ebintu ebiyidde kuliko amaka , awamu ne sitoowa enenne ebadde eriraanye amaka nga ebaddemu waragi n’ebikozesebwa.