Bya samuel ssebuliba.
Oluvanyuma lw’abantu ab’enjawulo okuvaayo okuwakanya eky’okwongeza omusaala abamu ku bakozi ba govt ate abalala nebatafiibwako, kyadaaki government ekiriza okudamu yetegereze olukangaga lw’omusaala luno.
Ebimu ku bisinze okunyiiza abakozi ba government kwekongeza abasomesa ba sayansi nga bano baakufuna obukadde 2, songa banaabwe abasomesa amasomo amalala baakuweebwa emitwalo 630,000.
Twogedeko ne minister akola ku bakozi ba government Wilson Muluri Mukasa n’agamba nti cabinet esazeewo okudamu yetegereze engereka y’emisaala gino, balabe awayinza okukyusibwamu.
Ono wayogeredde bino nga ababaka abatuula ku kakiiko kano kyebajje bategeeza nga bwebagenda okusimbira ekuuli engereka eno