Skip to content Skip to footer

Omumyuka wa Muft, Alambudde Eddwaliro lya SK Mbuga

Bya Shamim Nateebwa

Omumyuka wa Muft wa Uganda asooka Sheikh Abdallah Ssemmambo akubirizza abavubuka abalina ku ssente okuzikozesa obulungi nga bazissa mu bintu ebikalu ebirabwako ate ebisobola okuzza amagoba okusinga okuzoonoonera mumasanyu.

Sheikh okwogera bino abadde ku ddwaliro ly’omugagga SK Mbuga gye yamuyise okumulambuza omulimu gw’akoze e Makindye Lukuli mu Kawempe zooni.

Sheikh atenderezza omulimu omugagga SK Mbuga gw’akoze era n’asaba abantu bonna obutajaajamya ssente wabula bafube okuzissa mu bintu ebibazimba.

SK Mbuga ategeezezza Sheikh nti waadi 3 zimaze okuba nga zisitulwa bulungi kwezo 5 zasuubira okuzimba ng’ekizimbe kyonna kiwedde era omulimu gugenda bukwakku.

Mungeri yemu omugaaga SK Mbuga ngayita mu kibiina kye ekya SK Mbuga Foundation Africa aliko mmotoka za ambyulensi ez’omulembe 4 zaleese nga 2 ku zino aziwaddeyo okuyamba ku bantu b’omu kitundu kye.

Emu yakuyamba ku bantu b’e Konge-Buziga gyasula ate endala ali mu kwogerezeganya n’aba poliisi y’e Kabalagala agamba wakujibatnera.

Leave a comment

0.0/5