LYANTONDE
Bya Malikih Fahad
Omulmuzi we ddaala erisooka mu kooti ye Lyantonde aliko omusajja owemyaka 45 gwasibye mu kkomera emyaka 5 lwakubba nkota za ttooke.
Didasi Nayebale asingisddwa omusango gwokubba enkota zamatooke 2, geyabba okuva ku Magrate Nalunkuma omutuuze we Lyantonde.
Omulamuzi Tadeo Muyinda, akitegeddeko nti Nayebale yalumba olusuku lwa Nalunkuma nabbamu amatooke, agabalirirwamu emitwalo 3.