POLICE
Bya Samuel Ssebuliba
Police mu Kampala etegezezza nga bwekutte abajaasi ba UPDF babiri nga bateberezebwa okudda ku muvubuka Rogers Waiswa nebamukuba emigo egyamusse nga bamutebereza okubba cemment ku kizimbe kyebabadde bakuuma wali e Mutungo.
Abakwatidwa kuliko Rogers Kasigazi ne Shaban Musinguzi, nga bano kigambibwa nti bebakutte omuvubuka ono nga yetisse ensawo ya cemnt, kyoka mu kifo kyokumutwala ku police bamukubye emiggo egyemusse.
Ayogerera police ya kampala nemiriraano Emilian Kayima atubuulide nti bano bebamaze okumukuba nebalaba nga ali bubi nebagala okumutwala ku police, kyoka police nebabalagira okumutwale mu ddwaliro e Mulago, wabula kigambibwa olwatuus mu kubo nebamusuula okukakana ng’afudde
Mu kaseera kano police ebakkutte, songa nembooko z’ebamukubisizza zifuniddwa ng’ebizibiti.