Omuvubuka ow’emyaka 19 akoneddwa omupiira gw’emotoka nafa.
Okusinzira ku OC atwala eby’entambula poliisi ye Kanyanya, Richard Wabwire agambye nti omuvubuka akooneddwa ategerekese nga Ibrahim Kawere nga mutuuze we Nameere ekisangibwa e Kanyanya .
Omupiira guvudde ku motoka no.UAN 724P ekika kya Noah ebadde ku misinde egitagambika.
Omulambo gutwaliddwa e Mulago okwongera okwekebejjebwa nga yye omugoba w’emmotoka eno aggaliddwa.